Luganda Hymn

Yesu leero nkukowoola


1.Yesu Leero Nkukowoola, Ombere nkwegayirira,
Obulokozi bw’ondaga, Mala Gasenza nze.
Mala Gasenza nze, Mala Gasenza nze
Omusaayi gwokka gwe nneesiga, Mala Gasenza nze


2.Bujeemu bwange n’obubi, Ggwe omanyi ddala bwe biri,
Ka nkwesige ggwe bwesizi, Mala Gasenza nze.
Mala Gasenza nze, Mala Gasenza nze
Omusaayi gwokka gwe nneesiga, Mala Gasenza nze


3.Ssiyinza kweteekateeka, ssiyinza kwegendereza,
Olw’erinnya lyo ndokola, Mala Gasenza nze.
Mala Gasenza nze, Mala Gasenza nze
Omusaayi gwokka gwe nneesiga, Mala Gasenza nze


4.Nze nkuvuunamidde Leero, Nnewaayo mu mikono gyo,
Mukama nze ndi mudduwo, Yesu nkusenze ggwe.
Yesu nkusenze ggwe, Yesu nkusenze ggwe
Omussayi gwo gwe gundokola, Yesu nkusenze ggwe.

 


Yesu Musumba Wange


1.Yesu Musumba Wange, Bulijjo Ansanyusa,
Yesu anjagala ammanyi, Byonna ebirungi abimpa,
Ampita erinnya lyange, ambeera n’ekisa kye.


2.Ntambula nga sikyatya, Yesu mukuumi wange,
Mu biro eby’enjala andiisa, era bwe nnumwa ennyonta,
Antwala ku mabbali, ag’amazzi amateefu.


3.Si kirungi nsanyuke, Si kirungi njaguze,
Ne bwendifa talindeka, alintuusa ne mu ggulu,
Eyo gye naaberanga, Mu maaso ga katonda.

 


Yesu yajja alokole


1.Yesu yajja alokole
Abalin ebibi:
Naffe fenna abonoonyi
Anatusonyiwa.


Chorus
Neyanze nno
Yesu kulwo-Kwagal okunene
Ne ndab essanyu lingi nnyo,
Kubanga ndokose.


2.Tegwatuyikir omusayi
Ogusinga byonna?
Tewali gw’atayinza ye
Okulongos ennyo.


3.Tetuyinza ff okwetuusa
Mu ggulu n’akamu:
Mu kif ekyo
Mulituuka Abatukirivu.


4.Naye bwe tumukkiriza
Yesu mulokozi.
Atubala ng’abalina
Obutuukirivu.