Yesu ggwe eyanjagala
Yesu, ggwe eyanjagala Ka nzirukire gy’oli
Amayengo ag’ennaku Nga gankubira ddala;
Nkweka mu mikono gyo Abannumba ba maanyi,
Sirina magezi nze, Kkiriza omwoyo gwange.
Twewali kiddukiro Wabula mu mwoyo gwo;
Tondeka nga nteetera Nnateera kugwa bugwi.
Essanyu lyange lyonna Ndiggya mu kubeerwa kwo,
Nsenseze omutwe gwange Wansi w’emikono gyo
Ggwe wekka gwe neetaaga, Tewali akwenkana;
Agudde omuyimuse, Vumula azirise;
Omulwadde omuwonye, zibula eyazibibwa
Nze njijudde ekibi, Ggwe oli Butuukirivu.
Gye ndi yaza ekiso kyo Sangula ebibi byange,
Nnina ennyonta, ondeetere, Amazzi agamponya ennyo;
Ggwe oli nsulo z’obulamu Ka nsene omwo mwokka,
Omwoyo gwange gujjule Amazzi ag’obulamu.
Yesu leero nkukowoola
1.Yesu Leero Nkukowoola, Ombere nkwegayirira,
Obulokozi bw’ondaga, Mala Gasenza nze.
Mala Gasenza nze, Mala Gasenza nze
Omusaayi gwokka gwe nneesiga, Mala Gasenza nze
2.Bujeemu bwange n’obubi, Ggwe omanyi ddala bwe biri,
Ka nkwesige ggwe bwesizi, Mala Gasenza nze.
Mala Gasenza nze, Mala Gasenza nze
Omusaayi gwokka gwe nneesiga, Mala Gasenza nze
3.Ssiyinza kweteekateeka, ssiyinza kwegendereza,
Olw’erinnya lyo ndokola, Mala Gasenza nze.
Mala Gasenza nze, Mala Gasenza nze
Omusaayi gwokka gwe nneesiga, Mala Gasenza nze
4.Nze nkuvuunamidde Leero, Nnewaayo mu mikono gyo,
Mukama nze ndi mudduwo, Yesu nkusenze ggwe.
Yesu nkusenze ggwe, Yesu nkusenze ggwe
Omussayi gwo gwe gundokola, Yesu nkusenze ggwe.
Yesu Musumba Wange
1.Yesu Musumba Wange, Bulijjo Ansanyusa,
Yesu anjagala ammanyi, Byonna ebirungi abimpa,
Ampita erinnya lyange, ambeera n’ekisa kye.
2.Ntambula nga sikyatya, Yesu mukuumi wange,
Mu biro eby’enjala andiisa, era bwe nnumwa ennyonta,
Antwala ku mabbali, ag’amazzi amateefu.
3.Si kirungi nsanyuke, Si kirungi njaguze,
Ne bwendifa talindeka, alintuusa ne mu ggulu,
Eyo gye naaberanga, Mu maaso ga katonda.