Leero Bamalayika Bayimbira Kabaka
Leero Bamalayika Bayimbira Kabaka
Azaaliddwa gye tuli, Laba bwe yetoowaza:
Ye afuuse ommuntu, Okutugulumiza;
Mujje ab’ensi zonna, Okumutendereza.
Ref
Leero Bamalayika Bayimbira Kabaka.
Ffe tujje tumusuute, Emanuweri waffe;
Omwana w’omuwala, Yesu Omulokozi!
Azze Omusana gw’ensi, kutumulisa ffenna:
Tuleme okutambula, Mu nzikiza y’ekibi.
Kristo walubeerera, Mukama ow’ekitiibwa;
Ye Kabaka yennyini, Azzokubeerta naffe:
Azze mu buwombeefu, Mu ngeri ey’obuddu;
Okutufiirira fenna, Tuleme okubula.
Lwazi Lw’edda N’edda Ggwe
1.Lwazi Lw’edda N’edda Ggwe olwanjatikira nze,
Omwo mwennekwekera, omusaayi gwe mwegwava,
Ebibi binziyeko, mponya mu maanyi gange.
2.Emirimu gy’engalo n’okufuba kw’omuntu,
N’amaziga agajja ennyo emisana n’ekiro,
Byonna tebiggyawo bibi, Ggwe wekka omulokozi.
3.Sirina nze bulungi, nkwesize ggwe bwesizi,
Omwerere nyambaza, omunaku mpa ekisa,
Laba bwendi omubi Nnaaza Yesu nfa bufi.
4.Bwendituuka mu ggulu, nga nnina ebibala,
Bwendiraba ggwe Yesu, emisango ng’osala,
Yesu olwazi olwaase, kanneekwekenga mu ggwe.
Mmwe mwenna abalonde
1.Mmwe mwenna abalonde, Mujje musanyuke,
Mujje tugende e’Besirekemu,
Gy’azaaliddwa omwana wa Katonda.
Chorus
Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze,
Mujje nno tumweyanze, Mukama.
2.Katonda! Katonda! Ggwe musana gw’ensi,
Teyagaana kufuuka omuntu,
Katonda ddala, Mwana ssi mutonde.
3.Mmwe mwenna muyimbe, Ennyimba ez’amatendo,
Ab’omu ggulu mumuyimbire,
Musuute Yesu, mumutendereze.
4.Tukulamusizza, Eyazaalwa leero,
Yesu mukama tukusinza ggwe,
Katonda ddala, watwala omubiri.