Luganda Hymn

Ekiro ekyo


Ekiro ekyo, eky’ettendo
Mmunyeenye za yakKa
Mwana we yali azaazikidwa
Zaakuma Omwana omutukuvu
N’emirembe; Yebakke mu mirembe.


Ekiro ekyo, kitukuvu
Basumba balaba
Bamalayika nga bayimba
Okulaga omwana oyo
Kristo mulokozi – azaalidwa lero.


Ekiro ekyo, eky’ettendo
Omwana asusudwa
Ajudde essanyu n’okwagala
Amassamassa nga emmunyeenye,
Mutukuvu webake mu miremebe.

 


Katonda nsembeza


1.Katonda onsembeze kumpi Naawe,
Ne bwe ndikwatibwa Obuyinike.
Neeyongerenga era Okusemberera
Okusemberera Okumpi Naawe.


2.Obudde obw’obulamu Buwungeera:
So siraba n’omu Anambeera,
Nga nkwegayirira Olw’ekyo, sembera
Olw’ekyo, sembera Okumpi nange.


3.Kale okwolesebwa Kuve eri Ggwe;
Era awalinnyibwa Walabike.
Nga Bamalayika Bampenyezza okujja
Bampenyezza okujja Kumpi naawe


4.Kyenva nsanyukira Ekisa Kyo,
Kubanga Owulira Omuddu wo.
Katonda tondeka, Nga mbulubuutira
Nga mbulubuutira Wala naawe.


5.Edda ndiyingira Wa Kitange;
Nga nkomekkereza Ennendo zange
Ekirinsanyusa Yesu, kubeerera
Yesu, kubeerera Wamu Naawe.

 


Kiki Ekintukuza? Musaayi Gwa Yesu Gwoka


1.Kiki ekintukuza?
Musayi gwa Yesu gwokka.
Kiki ekinnongosa?
Musayi gwa Yesu gwokka.


Chorus
Musayi gwe gwokka
Gwe guntuza nze.
Tewali kirala
Musayi gwa Yesu gwokka.


2.Mmanyi ekintukuza,
Musayi gwa Yesu gwokka.
Kye mpoza kiri kimu
Musayi gwa Yesu gwokka.


3.Tewali kintu kyonna,
Musayi gwa Yesu gwokka.
Tewali kye nkola nze,
Musayi gwa Yesu gwokka.


4.Essuubi lyange lyonna,
Musayi gwa Yesu gwokka.
Obutukuvu bwange,
Musayi gwa Yesu gwokka.


5.Era mutendereza,
Olw’omusayi gwe Yesu,
Aweebwe ekitiibwa,
Olw’omusayi gwe Yesu.