Buli muntu yenna awulire
1. Buli muntu yenna awulire
Ebigambo by’Omulokozi w’ensi,
Bunya wonna wonna nti akkiriza,
Alirokoka mu ye.
Chorus
Mujje nno gye ndi abakooy(e) ennyo
mulyoke muwummulenga n’essanyu;
Buli muntu ajja namwaniriza,
Siimugobere bweru.
2. Buli muntu yenna asembere
Oluggi lw’omu ggulu lugguddwawo,
Yesu ge mazima, lye kkubo lyaffe,
Ekibalwisa kiki?
3. Buli muntu yenna amwagala,
Kye kigambo kya Katonda atalimba:
Kale bannange, tubunye ettendo lye,
Atugabidde buwa.
Bwe tutambulira awamu
1.Bwe tutambulira, awamu ne Yesu,
Mu musana ogw’Enjiri ye,
Tubeera mu kkubo, ery’ektiibwa kye,
Wamu n’abesigwa be bonna.
CHORUS
Mugondere, era omwesige,
Tewali kkubo ddala,
Erireet (a) essanyu.
2. Ebisiikirize, n’ebire biggwaawo,
Okutya n’okubuusabuusa;
Era n’amaziga, nago tegabaawo,
Eri abeesigwa be bonna.
3. Obubi n’ennaku, abitwetikkira,
Atuggyako n’obuyinike;
Ebituteganya, obikomerere,
Singa tukwesiga ggwe Yesu.
4. Tetunakakasa, kwagala na ssanyu,
Fenna bye tulibeera nabyo;
Okutuusa Yesu, lwe tulimulaba,
Wamu n’abeesigwa be bonna.
5. Tulibeera naye, tulituula naye,
Tulitambula wamu naye;
By’anatugambanga, tunaabikolanga,
Kino kyokka, tumwesige ye.
Bwenfuna Eddembe
1. Bwe nfun(a) eddembe
Mu bulamu bwange,
Oba bwe mbeera mu nnaku.
Onjigirize okukkirizanga,
Buli ngeri yonna mw’ontadde.
Chorus
Mirembe, mirembe;
Mukama njagala mirembe.
2. Setani bw’aleeta ebikemo bye,
Yimusa essuubi lyange,
Nti Yesu alab(a) obunafu bwange,
Era Ye atambula nange.
3. (E)kigambo kino Kyokka kye nesiga,
Nti ebibi byange byonna,
Byakomererwa ku muslaba gwe,
Mukama Yesu yebazibwe.
4. Mukama ayanguye olunaku,
Olulibikkula byonna;
(E)ssubi liritukirira bw’alijja,
Ndimulaba Yesu n’amaaso.