Abalwanyi ba Yesu
Abalwanyi ba Yesu
Mwekemba mujje
Tulwane na amaanyi
Temutya natte
Mumanye nti Yesu,
Yatuwanguza.
Tutuno abantu be
Ye nga yaffuga
Ref
Abalwanyi bbe, mujje!
Tweweeyo ffena,
Tugobbe Setani,
Mu kkubo lyaffe.
Ne bajajja ffe abedda,
mwekemba nabbo,
Ne bajja eri Yesu,
Muntalo zabwe.
Olutalo lwaffe
lwa bibi byona,
Ne Sitani ne bibi,
Era n’ensi.
Ba Katonda enkummu,
Be twasinza nga
Beebo betulumba
Nga tubaggoba,
Tuli nono Yesu,
Ffe gwe twesiga,
Wuuno yatuwanguza
Kaale tetutya.
Ne mumaaso ga Yesu
Katutambule
ffena nga twegemye
Na’amanyi gonna
Ekitiibwa kya Yesu
Mmwe twekweeka ffe
Nga ye bwe yawangula
Kumusalaba
Katonda nsembeza
1.Katonda onsembeze kumpi Naawe,
Ne bwe ndikwatibwa Obuyinike.
Neeyongerenga era Okusemberera
Okusemberera Okumpi Naawe.
2.Obudde obw’obulamu Buwungeera:
So siraba n’omu Anambeera,
Nga nkwegayirira Olw’ekyo, sembera
Olw’ekyo, sembera Okumpi nange.
3.Kale okwolesebwa Kuve eri Ggwe;
Era awalinnyibwa Walabike.
Nga Bamalayika Bampenyezza okujja
Bampenyezza okujja Kumpi naawe
4.Kyenva nsanyukira Ekisa Kyo,
Kubanga Owulira Omuddu wo.
Katonda tondeka, Nga mbulubuutira
Nga mbulubuutira Wala naawe.
5.Edda ndiyingira Wa Kitange;
Nga nkomekkereza Ennendo zange
Ekirinsanyusa Yesu, kubeerera
Yesu, kubeerera Wamu Naawe.
Kiki Ekintukuza? Musaayi Gwa Yesu Gwoka
1.Kiki ekintukuza?
Musayi gwa Yesu gwokka.
Kiki ekinnongosa?
Musayi gwa Yesu gwokka.
Chorus
Musayi gwe gwokka
Gwe guntuza nze.
Tewali kirala
Musayi gwa Yesu gwokka.
2.Mmanyi ekintukuza,
Musayi gwa Yesu gwokka.
Kye mpoza kiri kimu
Musayi gwa Yesu gwokka.
3.Tewali kintu kyonna,
Musayi gwa Yesu gwokka.
Tewali kye nkola nze,
Musayi gwa Yesu gwokka.
4.Essuubi lyange lyonna,
Musayi gwa Yesu gwokka.
Obutukuvu bwange,
Musayi gwa Yesu gwokka.
5.Era mutendereza,
Olw’omusayi gwe Yesu,
Aweebwe ekitiibwa,
Olw’omusayi gwe Yesu.